Amawulire
Mufti Mubajje mwetegefu okuzimba obuyisiraamu
Mufti wa Uganda sheikh Shaban Rwamathan Mubajje ategeezezza nga bw’ali omwetegefu okuzza ebintu by’obusiraamu byonna ebyatundibwa
Ng’ayogerako eri abakkirizza mu kusaala kwa wamu okubadde e Nakasero ku muzikiti, Mufti asabye buli alina ekintu ky’obusiraamu kyeyatwala okukizza baddizibwe ensimbi zaabwe
Mubajje era azzeemu okwetonda olw’okutunda ebintu by’obuyisiraamu.
Okusaala kuno kusanyalazza emirimu ku ku nguudo eziriranye omuzikiti guno ng’enkumi n’ekumi z’abasiramu bagenda okusaala.
Oluguudo oluva lwe Entebbe okutuuka ku Clock tower, wamu nolwa Nasser road zigaddwa okumala ebbanga.
Abe Kibuli bakyagaanye okukwatagana ne Mubajje nga bagamba nti asooke kuzza bintu bya busiraamu byeyakuba ebbeeyi.