Amawulire
Mujjukize abantu okunaaba mungalo
Bya Ivan Ssenabulya
Olwaleero nga 15 Okitobba 2021 lunnaku lwakunaaba mungalo munsi yoba oba International Handwashing Day.
Olunnaku luno lwabangibwawo okwongera okumanyisa abantu ku bukulu bwokunaaba mungalo, okusobola okwewala endwadde.
Ku mulundi guno luvugidde ku mubala “Our Future is at Hand – Let’s Move Forward Together”
Kati obubaka obujidde ku lunnaku luno, gavumenti esomozeddwa okutwala kawefube mu bantu okubazaamu amaanyi okunaaba mungalo.
Amyuka akulira emirimu ku kitongole kya Japan International Cooperation Agency (JICA) nga ye Mariam Nakaweesa agambye nti abantu betaaga okubuliira okunaaba mungalo bulungi ssenyiga omukambwe nebwanaaba aweddewo.
Okusinziira ku kunonyereza okwkaolebwa abekitongole kya Twaweza Sauti za Wananchi bannaYuganda bangi baali bettanide okunaaba mungalo mu 2020 wabula kati waliwo okudirira.
Ebibalo byalaga nti abantu 8 kubuli bantu 10 baali banaaba mungalo, nga 83% nga kino kyava ku bulwadde bwa ssenyiga omukambwe obwayingira egwanga.