Amawulire

Mukenenya yeyongedde mu disitulikiti za Uganda ezimu

Mukenenya yeyongedde mu disitulikiti za Uganda ezimu

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Akabi akajidde mu kirwadde kya ssenyiga omukambwe tekakosezza mbeera zabanatu zokka, wabula nakawuka ka mukenenya abakugu bagamba nti keyongedde mu bann-Uganda.

Kino kinokodwayo mu musomo ogukwata ku mukenenya ogwategekeddwa bannamwulire abasaka amwulire gebyobulamu, wansi wa Health Journalists Network Uganda.

Banokoddeyo disitulikiti okuli Sembabule ne Kiruhura mu Bugwanjuba bwe’gwanga ngobulwadde okusinga ssiriimu yeyongedde mu biseera ebyomuggalo.

Dr. Stephen Watiti omukugu eyebuzibwako kubya mukeneya agambye nti wabaddewo okulagajjala ngebyokwekuuma nokukozesa obupiira kalimpita wa bangi babadde babivaako dda.

Wabula awabudde ne bannamwulire bwandiike ku kakwuka ka mukenenya mungeri eyobuvunayizibwa.

Ate Jalia Nabulya okuva mu kitongole kya Aids Support Organisation (TASO) ettabi lye Mbarara, okweyongera kwa mukenenya akinentezza kungeri abebyokweinda gyebakwatamu obubi abanatiu mu muggalo nga babalamesa okutuuka ku malwaliro gyebafunira eddagala.