Amawulire
Munaana balumiziddwa mu kabenje
Abantu munaana beebalumiziddwa ebyensusso mu kabenje akagudde e Namanve mu disitulikiti ye Mukono.
Akabenje kano kalese abakoseddwa bamenyese amagulu n’emikono
Taxi namba UAK 811N ebadde eva e Kampala okudda e Lugazi eyambalaganye bukanzu ne Isuzu no UAU 201K ebadde eva e Jjinja okudda e Kampala
Atwala poliisi y’ebidduka e seeta Chemutai Basti agambye nti dereeva wa Isuzu ategerekese nga Abdu Kinene abadde awenyuka buweewo era n’ayingira taxi ebadde ku ludda olulala
Abalumiziddwa bategerekese nga Francis Bugingo, Hilary Alio, Sylivia Kinene,omugoba wa taxi ategerekeseeko erya Asuman n’abalala
Omu ku beerabiddeko n’agage Patrick Odongo ategeezezza nti mu kukonagana kuno, omwana ow’emyezi esatu ayise mu ddirisa nga bamulonze mu nsiko nga mulamu tteke
Abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago.