Amawulire

Munnamateeka Ssemakadde Kkooti emuweereza ekibaluwa ekirala

Munnamateeka Ssemakadde Kkooti emuweereza ekibaluwa ekirala

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda Road, Marion Mangeni ayisizza ekibaluwa ekirala ekiyita munnamateeka Isaac Ssemakadde okwanukula ku misango gye, egyokuyisa olugayi mu kooti nokukozesa obubi ebyuma bi kalimagezi.

Ssemakadde abadde asubirwa mu kooti olwaleero wabula tazze, atenga ne bannamateeka be tebalabiseeko okubaako kyebanyonyola.

Emisango egyivunanibwa Ssemakadde, gyawaabwa munnamateeka Robert Rutaro Muhairwe ngawakanya engeri gyatyobolamu essiga eddamuzi nabalamuzi.

Okusinziira ku Rutaro, Ssemakadde kigambibwa nti yayita ku mukutu gwe ogwa tweeter @isaacSsemakadde nawebuulaomulamuzi Musa Ssekaana, weyali ayogera ku musango gwa munnamateeka munaabwe Hassan Male Mabiriizi.

Kati Ssemakadde ayitiddwa nate okweyanjulamu kooti nga 27 April 2022 awatali kulemererwa.