Amawulire

Munnamawulire akaabizza abali mu kkooti

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

BEATEN JOURNALIST IN PAIN

Munnamawulire Andrew Lwanga ayunguse amaziga mu kaguli nga anyumya nga bukyanga eyali aduumira poliisi ya Old Kampala amukuba ku mutwe obulamu bwe bwakyuuka.

Lwanga alumiriza  Joram Mwesigye  okumutuusaako obuvune nga akola omulimu gwe.

Lwanga ajidde ku miggo, awadde obujulizi  nga Mwesigye bweyamukuba n’alekerawo okutegeera ebyaali ku nsi mu kiseera ekyo nga era okuva olwo obulamu bwe bwakyuuka.

Nga amaziga bwegamuyitamu, Lwanga ategezezza nga bwatakyasobola okutuula obulungi olw’enkizi okukosebwa nga era abasawo baamutegezezza nga bw’asaana okulongosebwa.

Bino byonna bibadde mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka  Sanyu Mukasa.

Kigambibwa nti  Mwesigye nga 12  January wali ku Namirembe Road y’alumya  Andrew Lwanga n’ayonoona ne Kamera ye bweyali akwata amawulire g’okwekalakaasa kw’abavubuka abatalina mirimu.