Amawulire
Munnauganda payiloti afiiridde mu kabenje kenyonyi mu DRC
Bya Mike Sebalu,
Waliwo munna Uganda omugoba w’ennyonyi afiiridde mu kabenje k’enyonyo egudde mu bitundu by’eggwanga lya DRC engo ng’ebadde ku lugendo olugituusa mu kibuga Goma mu gwanga elyo
Ennyonyi eno egudde mu kimu ku bibira gagadde mu gwanga elyo.
Captain Jackson Ninsiima 34 nzaalwa ya district y’e Kiruhura nga bafudde ne munne munnansi w’eggwanga lya Russia ategerekeseeko elya Peter.
Kitegerekese nti enyonyi eno olwagudde netuntumuka omuliro nga mpawo nakimu kubyabadde ku nnyonyi eno kitaasiddwa.
Kitegerekese ngi enyonyi eno ebadde ey’obwanannyini, yasimbudde Kasese okwolekera Goma ku lunaku lw’okuna wabula ekyadiridde kwekubula ku mutimbagano kwebagilabira ng’eri mu bwengula.
Ekyaddiridde gwabadde muyiggo era mu kilo ekikeesezza leero amawulire kwekukakasibwa nti basaaniddewo mu kabenje mu bibira mu gwanga elya DRC.
Kojja wa Jackson ono nga ye sentebe wa district y’e Kiruhura Mukago Daniel Rutetebya atubuulidde nti amawulire g’okufa kwa mutabani wabwe bagafunye saawa 3 ez’ekiro.
Atubuulidde nti okusinziira ku bali mu kukwasaganya ensonga zino, ebisigalira bitwaliddwa e Goma bakozese endaga buttonde okuzuula evvu ly’omugenzi.