Amawulire

Muntu akkirizza nti ekibiina tekirina ssente

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Muntu 2

Ssenkagale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu akkirizza nga ekibiina kye bwekitubidde mu katuubagiro k’ebyensimbi.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe  ky’ekibiina wali e Najjanankumbi Muntu ategezezza nga bwebatasobola kutalaaga ggwanga kumanyisa bantu ku bigendererwa by’ekibiina lwabbula lya nsimbi.

Omusango agutadde ku gavumenti kulemererwa kuwa bibiina byabufuzi mutemwa gwabyo nga bwekilambikiddwa mu mateeka.

Wabula Muntu agamba kino ssikyakubalemesa kubuulira bannayuganga bwetaavu bwa  nkyukakyuga .

Mungeri yeemu  Muntu atabukidde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni olw’okuyita ab’oludda oluvuganya emisege.