Amawulire

Muntu ayagala Gavt eyongere aba CID ensimbi balwanyise abamenyi b’amateeka

Muntu ayagala Gavt eyongere aba CID ensimbi balwanyise abamenyi b’amateeka

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Rita Kemigisa,

Oluvanyuma lwóbutemu bwebijjambiya okubalukawo mu disitulikiti ezikola obwagagavu bwe Masaka poliisi eyongedde okuyungula abawanvu na bampi okunyweza ebyokwerinda.

Okusinzira ku mwogezi wekitongole kya poliisi ekinonyereza kubuzzi bwemisango ekya CID, Charlse Twine, agambye nti basindise abakugu mu kunonyereza okuva ku kitebe ekikulu, nabakugu abalala okuva mu Directorate of Forensic services.

Asabye abatuuze okusigala nga bakakamu wasobole okubaawo emirembe ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.

Mungeri yemu ekibiina kye byobufuzi ekya Alliance for National Transformation (ANT) kisabye gavt nti eyongere okuteeka ssente mu kitongole kya poliisi ekinonyereza ku buzzi bwemisango, kyekijja okuyamba okukomya obutemu.

Ono okwogera bino nga abantu abantu 19 bebakattibwa mu bbanga lya mwezi gumu mu bwagagavu bwe Masaka.

Nolwaleero abatuuze be Bisanje-Kanyogoga mu divizoni ye Kimaanya-Kabonera bazudde omulambo gwa Peter Mayanja ngabadde amanyiddwa nga Yeye ng’abatemu baamusse mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Songa mu kusooka baazudde omulambo gwa namukadde owemyaka 70 Annet Nampijja ku kyalo Kasaali mu gombolola yeemu eya Kimaanya-Kabonera.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe kyekibiina mu Kampala, pulezidenti wa ANT Rtd Maj. Gen Mugisha Muntu agambye nti obukugu bukyetagisa nnyo mu kitongole kya CID nokukiwa obuyambi bwensimbi obwetaagisa okusobola okukola emirimu gyakyo obulungi.

Ye omwogezi wa poliisi mu bitundu ebyamasekati ge ggwanga Muhammed Nsubuga agamba nti obutemu obugenda mu maaso e Masaka bwekuusa ku nkayana zettaka.