Amawulire

Munyweeze Namulondo- Katikkiro

Ali Mivule

October 15th, 2014

No comments

Katikkiro at Parliaent

Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga asabye ababaka ba palamenti  abava mu Buganda ,okusimbira ekkuuli enongosereza yonna mu ssemateeka wa Uganda eziyinza okuwebuula Namulondo.

Katikiro okwogera bino abadde asisikanye ababaka ba palamenti  abava mu Buganda mu nsisinkano ebadde  mu Bulange e Mengo.

Katikiro agambye nti ebintu nga ensalo za Buganda wamu n’ettaka lya Buganda birina okussibwamu ekitiibwa.

Ababaka abakulembeddwamu ssentebe waabwe Godfrey Kiwanda basabye Katikiro okubategekera ensisinkano ne ssabasajja  okusobola okumwanjiza ensonga zaabwe, nga kwogasse n’okutandika kawefube ow’okulwanyisa obwavu mu Buganda ngabweyakola ku kawefube w’ettaffali.

Wabula katikiro bano abasuubiza okutwala okusaba kwaabwe eri Kabaka.