Amawulire
Munyweyerenga ku diini yammwe
Bya Ndaye Moses, Kyeyune Moses ne Perez Rumanzi
Ssabalabirizi we kanisa mu gwanga lya Kenya Jackson Ole Sapit asabye abakiriza, bulijjo okunywereranga ku Katonda ne diini yaabwe.
Ono yabulidde ku kiggwa kyabajulizi muba-Anglican e Nakiyanja mu kulamaga okwomwaka guno.
Agambye nti okulamaga, kuno gubeere omukisa omunene okwejukanya ku bweyamu bwaffe eri Katonda.
Asabye abakrisitaayo bulijjo era okguminkirza, embeera ebanyigiriza gyebayitamu, wabule besige Katonda/
Okusaba e Nakiyanja kwetabiddwamu ssabaminista we gwanga Dr Ruhakana Rugunda, omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga nabakulu mu gavumenti abalala njolo.
Ate ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Kitaffe mu Katonda Stenely Ntagali atenderezza, munne owe Kenya Jackson Ole for olwobutawagira bisiyaga.
Ole amanyikiddwa mu nsi wonna, okuwakanya omukwano ogwekifuula nenge.
Ssabalabirizi Ntagali wano waakubidde omulanga eri bakulembeze banne, mu dini obutawagira bisiyaga bakirze oba kufa nga baavu, nga nabaksitaayo bennyini tebatekeddwa kwekiriranya kuba kibi mu maaso ga Katonda.
ate ssabakiristu we Ntungamo Fr. Archleo Kafero asabye abavubuka, balabire ku bajulizi ba Uganda, nolese okwagala eri banaabwe.
Bino bibadde mu bubaka bwe mu mmisa eyabajulizi, ngagambye nti okufa kwabwe kulagira ddala okwagala kwa Yesu Kristu.
Eno okusaba kukwatiddwa ku ssomero lya Ntungamo High schoo, nomulanga nti luno terutekeddwa ubeera ngolunnaku olwa buli mwaka okujaguza, wabula wabwweo enkyukakyuka mu bulamu bwabkristu.
Kati omukulu we ssomero lino Wilson Byamukama agambye nti guno gubadde na mukisa gwamanyi, eri abayizi okumanya okusomozebwa kwebasanga.