Amawulire
Musenguke
Abantu abali mu bifo ebili mu buiabe bw’okukosebwa enkuba balagiddwa okubyamuka
Ekitongole ekikola ku ntebereza y’obudde kyekikoze okulabula kuno nga kigamba nti enkuba ekyajja
Okulabula kuzze ng’amataba gafuuse amataba mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu ng’abe kasese beebasinze okugawuliramu.
Abaayo abakunukkiriza mu mutwalo tebakyalina webegeka luba ate nga munaana baafa
Commisioner akola ku ntebereza y’obudde, Michael Nkalubo agamba nti ennaku musanvu eziddirira enkuba egenda kutonnya nga y’amaanyi era abantu basaanye okwetegeka
Bino bizze ng’enkuba yyo emalidde ko ddala abe kasese obwekyusiz ol’wamataba agatasalako.
Amataba gano gongedde okubuna amasaza amalla munaana
Muno mwemuli essaza lye Karusandara, Maliba, Bugoye ne Bwisumbu
Abakungu mu ofiisi ya ssabaminsita, aba Recross n’abakulembeze mu bitundu bino bakwataganye nga bamaze okussaawo enkambi ku ssomero lya Kasese Primary okuyambako
Enkambi eno elimu abantu katia basoba mu 800 okuva ku district ye Bulembia
Waliwo n’okutya nti n’endwadde ezitali zimu zandibalukawo olwa kabuyonjo ezatwaliddwa enkuba
Yye omubaka omukyala owe Kasese Wilnfred Kiiza amaze ku ddimu ly’okusonda ebintu ebiyinza okuyambako abakoseddwa amataba