Amawulire

Museveni akoze ebisubizo byabwesede 75 byatanatukirizza

Museveni akoze ebisubizo byabwesede 75 byatanatukirizza

Ivan Ssenabulya

July 6th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Obukulembeze bwakakiiko ka palamenti, akalondoola ebisubizo bya gavumenti aka Government Quality Assurance bagala palamenti eyimirize omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni obutaddamu kukola bisubizo.

Ssentebbe wakakiiko kano, omubaka wa munisiapaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke nomumyuka we Joseph Gonzaga Ssewungu, bagambye nti waliwo obwetaavu palamenti okukoma ku mukulembeze we’gwanga kubanga asusizza okweyama natataukiriza.

Kitegezeddwa nti omukulembeze we’gwanga, awamu ebisubizo byatanatukiriza bibalirirrwamu obwesedde 75.

Namabooze era ayongedde okubanja nti obukulembeze bwobukiiko bubiri ake’ddembe lyobuntu nakakola ku bwenkanya oba Equal opportunity committee, obukulembeze bwabwo bujibwe ku NRM okudda mu mikono gyaboludda oluvuganya gavumenti.

Bano bagamba nti aba NRM balemereddwa okuteeka gavumenti ku nninga.