Amawulire

Museveni akunze bamusiga nsimbi okuva e Butuluki okwetanira Uganda

Museveni akunze bamusiga nsimbi okuva e Butuluki okwetanira Uganda

Ivan Ssenabulya

May 12th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omuk weggwanga akubiriza bamusiga nsimbi okuva mu ggwanga lya Butuluki okweyambisa emiwatwa egiriwo bongere okusiga ensimbi mu Uganda ne mu East Africa.

Bwabadde agulawo olukungana olwebyobusuubuzi wakati wa Uganda ne ggwanga lya butuluki e Munyonyo, Museveni agambye nti waliwo ebintu bingi ebyetaaga okuteekamu ensimbi omuli ebyobulamu, ebyenjigiriza ne mu byobulimi.

Ono agambye nti Uganda yetaaga omuntu yenna asobola okwongera omutindo ku bikolebwa wano.

Museveni wabula alabudde bannauganda abali mu byobusuubuzi obutafera bamusiga nsimbi abajja kuno

Olukungana lutambulidde wansi womulamwa ogugamba nti okwongera amaanyi mu kusiga ensimbi mu ggwanga lino oluvanyuma lwomuyaga gwa covid.