Amawulire
Museveni akuutidde tiimu ekikiridde uganda mu za-OLympics
Bya Ivan Ssenabulya,
Omukulembeze wegwanga asimbudde abaddusi abagenda okukikirira Uganda mu mpaka za Olympic ezigenda okuyindira mu ggwanga lya Japan
Bano abakuutidde okubeera ne mpisa nga batuuseeyo.
Bwabadde asimbula abaddusi bano ku kisaawe e Kololo mu Kampala, Museveni mungeri yemu abakuutidde okufaayo enyo ku bulamu bwabwe mu kiseera kino nga amawanga galwanagana ne kirwadde kya covid-19
Empaka za Olympics zakubeera mu kibuga Tokyo zitandika ngennaku zomwezi 23rd omwezi guno
Pulezidenti era asabye bannabyamizannyo bano okweyambisa talanta zabwe si mu kutunda Uganda ebweru kyokka wabula ne Africa okutwaliza awamu
Mungeri yemu ye Ambassador wa Japan mu Uganda H.E Fukuzawa Hidemoto akakasiza abazannyi bano nti bakumalako empaka zino mu bukuumi awatali yadde okutya ekirwadde kya ssenyiga omukambwe
Era mukakafu nti empaka zino zakunyweza enkolagana ya mawanga gombi
Ate ye minisita avunanyizibwa ku byemizannyo ne byenjigiriza Janet Museveni asabye bannabyamizanyo bano okuba abavumu era babe ne ssuubi.
Tiimu ya Uganda ekulembedwamu munnabyamizannyo Steven Kiprotich.