Amawulire
Museveni alabudde abavubuka
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabye abavubuka okusitukiramu balwanyise ebbula ly’emirimu nga baboola abo bonna abalemesa amakolero okutandikibwa wano mu ggwanga.
Museveni agamba abasimbira ekkuuli amakolero gano bebabalemesezza okufuna emirimu kale nga basaana okubeera abegendereza n’abantu ab’engeri eno.
Bino pulezidenti y’abyogedde ateeka omukono ku ndagaano ne kampuni y’abakyayina eya Guangzhou Dongsong Energy nga bano bagenda okuyamba okuyikuula eky’obugagga lya Phosphate mu osukuru nga era pulojekiti yakumalawo obukadde bwa doola 620
Museveni y’ategezezza nga yye bwakooye okulwanira abavubuka bano entalo zaabo nga kati balina okwerwanako kubanga yye takyanoonya mulimu.