Amawulire

Museveni alabudde bannannyini ttaka ku b’ebibanja

Museveni alabudde bannannyini ttaka ku b’ebibanja

Ivan Ssenabulya

June 9th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni awabudde ab’ebibanja okukwatagana n’abakulembeze baabwe okugaana bannanyini ttaka okubagobaganya kuttaka kuba tekiri mu mateeka.

Bino pulezidenti abyogeredde ku mukolo gwa abazira ogubadde e kasanje ku kisaawe mu disitulikiti y’e Wakiso

Museveni agambye nti ab’ebibanja tebalina kukkiriza bannyini ttaka kubasengula ku bibanja byabwe nga tebeyagalidde kuba bakikolera mu bukyamu, okugyako nga nnyini kibanja yasazeewo okutunda.

Omukulembeze okwogera bino nga nokusika omuguwa ku b’ettaka na b’ebibanja kw’eyongedde nnyo mu ggwanga era kuvirideko n’abamu okufuurwa obulamu.

Mungeri yemu omukulembeze w’eggwanga azzemu najukiza bannauganda okukola enyo basobole okwegobako olunabe lw’obwavu nga benyigira mu by’obulimi n’obulunzi, amakolerelo amatonotono, n’okwenyigira mu by’empereza ng’okuvuga bodaboda, okufumba mu woteeli ne birala.

Museveni agamba nti singa bannauganda benyigira mu by’obulimi n’obulunzi ne byamenye waggulu obwavu bwakusigala mu ngero gyebali kuba bino bifuna kilalu.

Mungeri yemu Museveni akakasiza bannauganda ku nkulakulalana ejja n’okukola enguddo.