Amawulire
Museveni alabudde ku mukenenya
Pulezidenti Museveni asabye abavubuka okussa envumbo ku by’okwegadanga bwebaba bakulwanyisa mukenenya
Bino pulezidenti abyogedde ayogerako eri abantu be Kabarole abakungaanye okwetaba ku mikolo gya mukenenya.
Pulezidenti agambye nti ssinga abavubuka beekuma nebewala okwegadanga okutuuka nga bafumbiddwa oba okuwasa kijja kuyamba nnyo.
Mu kampala emikolo gy’olunaku lwa mukenenya gibadde kawempe ku kisaawe.
Wano ebitongole wamu nebibiina by’obwanakyewa webikunganidde okusomesa abantu ku bikatagana ne mukenenya.
Bangi bakebereddwa akawuka akaleeta mukenenya, kansa wa nabaana era nga wabaddewo n’okugaba omusaayi.