Amawulire
Museveni alagidde abagamba mbu yafa bakwatibwe
Bya Rita Kemigisa
Omukulembeze weggwanga YK Museveni ayanukudde ababadde babungeesa engambo ku mikutu egyómutimbagano nti yafa.
Mu nnaku zino amawulire ku mikutu gyomutimbagano gabadde galaga nga pulezidenti museveni bwali omulwadde enyo oba nokuba nga yafa dda
Wabula bwabadde ku mukolo ogwokulayiza ba minisitabe abalala ku kisawe e Kololo, Museveni abatambuza amawulire gokufakwe abayise basirusiru era balina okukwatibwa.
Kati alagidde abakuuma ddembe okutandikirawo okunonyereza bazuule abantu abalubunza nga bweyafa.
Museveni alagidde nti bano bwebakwatibwa balina okukangavulwa bakomye akamanyiro ne bula bikolwa.