Amawulire
Museveni alagidde Covidex atwalibwe mu malwaliro
Bya Ivan Ssenabulya
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni alagidde kampuni ya Jena Herbals limited, abakola eddagala lya Covidex okutandika okubulibunyisa mu malwaliro.
Eddagala lino lyavumbulwa omusomesa ku ttendekero lya Mbarara University, Prof Patrick Ogwanga nerikakasibwa ekitongole kya National Drug Authority, okuyambako mu bujanjabi bwa ssenyiga omukambwe.
Bweyabadde ayogerera ku mikolo gya Tereh-Sita egyomulundi ogwa 41 e Mbale, Museveni era yatenderezza banna-Uganda olwokugoberera ebiragiro bya gavumenti okutangira ssenyiga ssenyiga omukambwe.
Agambye nti waliwo ebikoleddwa, era bagenda kowngera amaanyi mu kugema nokukozesa eddagala lyebavumbudde mu bujanjabi.
Eddagla lya Covidex kati liri ku katale, wabula libadde likyatundibwa mu maduuka ageddala nayenga terinabunyisbwa mu malwaliro.