Amawulire
Museveni alagidde egwanga likungubagire Oulanyah
Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni alagidde bendera, zonna mu gwanga zewubire mu masekati gamirongooti ngegwanga likungubagira abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah.
Oulanyah yafiridde mu Seattle mu gwanga lya America gyabadde ajanjabirwa, ngomukulembeze wegwanga yeyakaksizza okufa kwe, olunnaku lweggulo.
Mu kiwandiiko kyafulumizza, pulezidenti alagidde akakiiko akatekateeka okuziika, akakubirizibwa minisita wensonga zobwa pulezidenti Milly Babalanda, katandike okubaga entekateeka nga bwenabeera.
Agambye nti ebisingawo ku ntekateeka z’okuziika byakutegezebwa egwanga, gyebujjako.
Oulanyah bangi bamukungubagidde, era bamwogeddeko ngabadde omubaka wa palamenti omumanyi bwekituuka ku mateeka.
Bangi bamutenderezza olwokukwatanga obudde, atenga abadde muntu mugundiivu mu kibiina kya NRM, yabadde amyuka ssentebbe wa NRM mu mambuka gegwanga.
Oulanyah abadde mubaka wessaza lye Omoro mu palamenti eyomulundi ogwe 11.