Amawulire

Museveni asabye bannabyabufuzi

Museveni asabye bannabyabufuzi

Ivan Ssenabulya

December 31st, 2022

No comments

Bya Ben Jumbe,

PULEZIDENTI Yoweri Museveni asabye bannabyabufuzi mu Uganda okukulembeza enteekateeka y’okufukirira ebirime mu mbalirira eddako n’okuzimba ekkolero ly’ebigimusa e Tororo okulaba ng’ebyobulimi byeyongera mu ggwanga.

Pulezidenti okwogera bino yasinzidde mu bikujjuko bya ba- father 2 bannyina bamyuka  oomuk weggwanga Jesica alupo, okuli Rev. Father Paul Benedict Francis Imalingat ne Rev. Father Lawrence Immas Akepa bwebabadde bajaganya okuweza emyka 25 nga baweereza katonda ebyabadde mu Disitulikiti y’e Katakwi.

Pulezidenti Museveni yazzeemu okutegeeza nti gavumenti egenda okukulembeza enkola y’okufukirira ebirime era egenda kussaawo enteekateeka y’okukozesa ppampu ezikozesa amasannyalaze g’enjuba okusobozesa abalimi okusika amazzi mu ttanka gebeyambisa okufukirira.

Pulezidenti yakkaatirizza obukulu bw’obugagga ng’akubiriza abantu bonna okwettanira ennima ey’omulembe ey’obusuubuzi basobole okutondawo obugagga