Amawulire
Museveni asisinkanye abalabirizi abava mu Buganda
Bya Ivan Ssenabulya
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni asabye bannadiini, okwongeramu amaanyi okubunyisa engiri eyokukola okulwanyisa obwavu nokutondawo obugagga.
Museveni agamba nti ekyo kyennyini Ktaonda kyabasubiramu, era alagira abantu bakole obutebalira.
Yagambye nti nabwo buvunanyizibwa bwabwe okulaba nga bongera ku nnyingiza yamaka, nokukyusa embeera zaabwe.
Museveni bino yabyogeredde mu kusaba okwokwebaza Katonda, kweyategekedde mu maka g’eKisozi mu disitulikiti ye Gomba.
Mu kusaba kuno asisinkanye abalabirizi ba Buganda mu kkanisa ya Uganda ne bakyala baabwe, nga kwetabiddwamu ne minisita webyenjigiriza nemizannyo era mukyala we Janet Museveni.