Amawulire

Museveni asisinkanye Miss World

Museveni asisinkanye Miss World

Ivan Ssenabulya

July 26th, 2019

No comments

Bya Ben Jumbe

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni asabye Nalulungi wensi yonna Vanessa Ponce, ne munne owa Uganda era Miss World Africa Quinn Abenakyo okuteeka amaanyi mu kutunda era okulaga ebyobulambuzi ebiri mu Uganda.

Agambye nti ebyobulambuzi mpagi yamaanyi esobola okuwanirira ebynfuna bye gwanga ate nokuyamba abantu bangi.

Yye Miss World Vanessa Ponce ategezezza omukulembeze we gwanga, nti ng’ojeeko okutumbula ebyobulambuzi, ekifo kino era kyabangibwawo okujuna abantu abali mu bwetaavu, naddala abakyala nabaana.

Bino abyogedde bwabadde akyazizza ba Nalulungi bano mu maka ge Rwakitura mu district ye Kiruhuura.

Vanessa Ponce Nalulungi we gwnaga lye erya Mexico, agenda kwetaba ku mukolo gokuttikira Nalulungi wa Uganda owa 2019 wano mu Kampala olwaleero.