Amawulire

Museveni asubizza okumaliriza ennyumba y’Oulanyah

Museveni asubizza okumaliriza ennyumba y’Oulanyah

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omubaka wa Kilak North nga ye ssentebbe wakabondo kababaka ba palamenti abava mu Acholi, Anthony Akol aliko byanyonyodde ku lukiiko lwebetabyemu n’omukulembeze wegwanga mu maka gobwa pulezidenti wiiki ewedde.

Bwabadde ayogerako naffe, omubaka Akol agambye nt babadde okusinga bateesa kungeri yokuzikamu abadde sipiika wa palamenti, omugenzi Jacob Oulanyah, okumanya mu butongole ekyasse omugenzi nokunyweza ebyo byabadde akoze obutasanawo.

Akol, agambye nti bakanyizza okutekayo olukalala lwamanya gabaana bonna ababadde balabirirwa omugenzi Oulanyah okuyambibwako gavumenti.

Agambye nti omukulembeze wegwanga eyayamye okuwererea abaana b’omugenzi nabalala 186 babadde alabirira.

Omukulembeze wegwanga era yasubizza nokumaliriza ennyumba yougenzi Oulanyaha, eyobuwumbi 2 gyabadde azimba mu kyalo ebadde tenaggwa.

Mungeri yeemu, omulamuzi wa kooti ensukulumu eyawummula Prof George Kanyeihamba, ngono yeyali ssentebbe wakakakiiko kamateeka mu Constituent Assembly abamu ku babaka ssemateeka wegwanga owa 1995, agamba nti tekyetagisa okukola enongosereza mu ssemateeka ku byobukulembeze bwa palamenti.

Ssemateeka wegwanga yazuliddwamu emiwaatwa, ngenyingo eye 82 (4) eraga nti tewali mulimu guyinza kugenda mu maaso awatali sipiika wa palamenti, ngamyuka Sipiika teyayogerwako.

Ono anyonyodde nti ennyingo 82 yeemu etekawo era obudde obumala okulonda sipiika omugya, ssinga ekifo kino kisgala nga kilalu.

Bino byebyagoberedde okufa kwabadde sipiika Jacob Oulanyah, nga wabadde obwetaavu okujuza ekifo kye omulambo gwe gusobole okuletebwa mua palamenti okumukungubagira.

Wabula bwabadde ayogerako naffe Prof Kanyeihamba ngagambye nti waliwo bingi ebyatunuiirwa lwaki etteeka lino, lyalekebwa nga bweriri era agamba nti terisaanye kuddamu kulitigatiga.

Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, palamenti yatudde mu lutuula olwenjawulo nebalonda sipiika omugya Anita Among n’omumyuka we Thomas Tayebwa.