Amawulire
Museveni atendereza Bannaddiini okuvaayo ne bagaana Ebisiyaga
Bya Juliet Nalwooga,
Pulezidenti Museveni ayozaayozezza bannaddiini ne Bannayuganda okutwaliza awamu olw’okugaana era mu ddoboozi limu ne bagamba nti kikafuuwe okukkiriza ebisiyaga mu Uganda.
Bwabadde ku mukolo gw’okujjukira omugenzi eyaliko Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Janani Luwum e Mucwini mu disitulikiti y’e Kitgum, pulezidenti agambye nti kiba kikyamu okwekwenyakwenya eggwanga ne likkiriza ebikolwa ebikyamu.
Olunaku lw’eggulo olukiiko olugatta amaddiini mu Uganda lwaweze okukola kyonna ekisoboka okulaba nga ebbago ly’etteeka erirwanyisa obufumbo bwekikula ekimu lidda mu Palamenti, ng’ekimu ku bigenda okukolebwa okulwanyisa okusasaana kw’ebisiyaga naddala mu masomero.
Sheikh Shaban Ramadhan Mubaje Mufti wa Uganda, yategeezezza nti Palamenti yayisizza ebbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga Pulezidenti lye yassaako essira ne lifuuka etteeka mu 2014, kyokka ng’abantu abamu baagenda mu kkooti ne bagisazaamu.