Amawulire
Museveni awabuddwa kubyakakalu ka kooti
Bya Ritah Kemigisa
Abatubulizi bensonga ne bannamateeka basabye omukulembeze wegwanga okwongera okuteeka ssente mu byokunonyereza.
Bagamba nti okunonyereza kwetaaga okwongeramu amaanyi, mu kifo kyokujjawo bail oba akakalulu ka kooti eri abateberzebwa mu misango eminene.
Bweyabadde ku Hot Seat wano ku Kfm, akawungeezi keggulo, Godber Tumushabe nga munnamateeka era akulira ekitongole kya Great Lakes Institute for Strategic Studies agambye nti tekibere kyabwenkanya naddala eri abantu ate abanazuulwa nti emisango tebajizza.
Okusinziira ku Tumushabe, waddenga buli muntu wa ddembe okusaba akakalu ka kooti, ssi nti kaweebwa buli asabye.
Agambye nti endowooza z’omukulembeze wegwanga ku nsonga zino, zirimu okuwubisibwa.
Bbo ababaka bakabondo ka NRM balagiddwa okwebuuza ku nsonga eno, wabula abmu balayodde obutawagira kiteeso kino.