Amawulire
Museveni ebyokuggulawo amasomero abigaanye
Bya Damalie Mukhaye
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni agobye okuwabula okwabadde kuvudde mu bakugu, okuggulawo amsomero mu mwezi ogujja ogwekkumi.
Omukulembeze wegwanga kyakoze alagidde olukiiko olwa waggulu olulwanyisa ssenyiga omukambwe, okwekennneya akabi akagenda okuva mu kizibu kyobutabeera na ddagala erigema erimala.
Kino alagudde nti kigenda kubeera kyabulabe, eri abazadde, abakadde nabakozi mu masomero ssinga egwanga linagenda mu muyaga ogwokustu ogwa ssenyiga omukambwe.
Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo, Dr Dennis Mugimba, agambye nti babadde bawabudde amasomero gagulewo omwezi ogujja mu mpalo.
Agambye nti omukulembeze wegwanga yabalagidde okubga entekateeka endala, oluvanyuma lwokuba nti abasomesa, abakozi mu masomero nabayizi abali mu myaka 18 batono abagemeddwa.
Olunnaku lweggulo werwatukidde ngabasomesa emitwalo 20 mu 9,527 nga 38% bebakagemebwa ku basomesa emitwalo 55.
Dr Mugimba, agambye nti omukulembeze wegwanga ybalagidde nti bakwatagane ne minisitule yebyobulamu okuteeka amaanyi mu kugema, amasomero galyoke gagulewo.