Amawulire

Museveni waakwetaba ku lunnaku lwa Luwum

Museveni waakwetaba ku lunnaku lwa Luwum

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2022

No comments

Bya Tom Angurin

Omukulembeze wegwanga Yoweri Kaguta Museveni kikakasiddwa nti wakwetaba mu bikujjuko ebyomulundi ogwa 7, ku lunnaku lwa Arch Bishop Janan Luwum Day, egigenda okuberawo nga 16 February e Kololo.

Olunnaku luno lwalangirirwa mu mwaka gwa 2015, nga lukuzibwa buli nga 16 February okujjukira omugenzi.

Kino kyakakasiddwa minisita omubeezi owempisa nobuntu bulamu Rose Lilly Akello nga yakunze abanu okujjumbira okukuza olunnaku luno, okujjukira St Janan Luwum eyasiga ensigo eyemirembe.

Omugenzi yali Mulabirizi wettundutundu, omwali mutwalira amawanga Uganda, Rwanda, Burundi ne Boga-Zaire nga kigambibwa nti yatemulwa Omugenzi Iddi Amin Dada mu 1977.

Ajjukirwa nti yayimirirra ku maviivi ge, okuwakanya ebikolwa ebyokutulugunya abantu nokutyoboola eddembe lyobuntu.