Amawulire

Museveni yepenye abavuganya ne bannakyeewa

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Museveni speaks

Pulezidenti Museveni yepenye okukubaganya ebirowoozo ku kawefube w’okusaba nti okulonda kube kwa mazima na bwenkanya

Teri era mukulu yenna kuva mu gavumenti yeetabye ku mukolo guno yadde nga pulezidenti yakakasizza nti y’ajja okuggulawo.

Munnawulire wa pulezidenti Museveni Tamale Mirundi agamba nti mukama we abadde n’eby’okukola bingi era nga yawaayo dda ebirowoozo bye ku kulonda era ng’abadde takakasa nti baamuyise

Mirundi agamba nti pulezidenti ebirowoozo bye yabiwa NRM kale nga tewali nsonga lwaki abadde agendayo.

Omu ku bategese olukiiko luno Job Kiija agambye nti yadde teri mukulu kuva mu gavumenti azze, abantu sekinnoomu okuva mu NRM babaddeyo okubadde ababaka ba palamenti, abakulembeze ba disitulikiti, aboogeezi b’enkiiko ,abakuuma ddembe okuva mu kitongole ekikessi munda mu ggwanga nga n’amaggye genyini gakiikiriddwa