Amawulire
Museveni yewadde wiiki 2 okusalawo ku bbago lyabakozi
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni yewadde wiiki 2 okusalawo ku nsonga zebbago erye nongosereza eryekitavvu kyabakozi.
Kino kidirirdde abantu abenjawulo okumuwabula, ebikontana ku bbago lino, National Social Security (Amendment) bill.
Mu bbago lino, abakozi abaweza emyaka 45, nga baterekedde emyaka 10 bakuwebwanga ekitundu ku ssente zaabwe.
Bweyabadde asisinkanye ababaka babakozi, ssenkulu wa NSSF ne minisita webyensimbi, pulezidenti Museveni yagambye nti yabadde yetaaga okubaako byebamunyonyola ku byebibalo.
Yagambye nti alina okwetegereza ebibalo, oluvanyuma lwababaka okumuteeeza ng’obuwumbi 800 bwebwetagibwa okuwa ku bakozi ssente zaabwe abagwanidde.
Wabula ssenkulu wa NSSF Richard Byarugaba yagambye nti obwesedde 3 bwebwetagibwa, ekyamutabudde.