Amawulire
Mutabani wa Gaddafi yesimbyewo kubwa pulezidenti
Bya Musasi Waffe
Mutabani weyali omukulembeze wegwanga lya Libya omugenzi Col Muammar al-Gaddafi yewandisizza okuvuganya ku bukulembeze bwegwanga, mu kulonda okugenda okuberawo omwezi ogujja.
Egwanga lino ligenda kubeera nokulonda nga 24 Decemba, 2021.
Saif al-Islam Gaddafi yaliko omusika wa kitaawe era omuganzi mu gwanga lino, wabula erinnya lya nobuganzi bwe bwanafuwa mu myaka 10 kitaawe bweyali alwanyisa abekalakaasi.
Okuva omugenzi Gadaffi bweyattibwa mu mwaka gwa 2011, Libya yeyawuddemu era ebaddemu entalo zobukulembeze ezitakya.
Kati Saif al-Islam Gaddafi oluvanyuma lwokwewandiisa ayogedde ku Camera, nanokolayo ebyawandikibwa mu kitabo ekitukuvu ekya Koran, “nti Omulamuzi muffe era abantu baffe gemazima”.
Mu biseera ebyagoberera nga Gaddafi amaze okuttibwa Saif al-Islam Gaddafi yakwatibwa amagye naweebwa ekibonereoz kyakutugibwa ku kalabba, wabula oluvanyuma lwemyaka 6 baamuddiramu nebamuyimbula, ng’ebbanga lino abadde yasirika.
Abalala abavuganya ku bukulembeze kuliko, eyali omuyekera Gen Khalifa Haftar, Ssabaminisita Abdulhamid al-Dbeibah ne Sipiika wa palamenti Aguila Saleh.