Amawulire

Mutumbule obulambuzi bw’awaka

Ali Mivule

February 14th, 2015

No comments

tourism Uganda

Gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu kusomesa wamu n’okumanyisa bannayuganda ebikwata ku bifo by’obulambuzi ebiri mu ggwanga, okusobola okwongera ku muwendo gw’abalambuzi abava munda mu ggwanga.

Okunonyereza kulaga nti abalambuzi abasinga okujja mu ggwanga bava mitala w’amayanja, songa bannayuganda naddala abalina ku nsimbi bagenda emitala w’amayanja okwewummuzaamu.

Akulira  kampuni ya Day Light travel consults James Hilary Yiga agambye nti bannayuganda abasinga obungi tebamanyi kikwata ku byabulambuzi ebiri mu ggwanga, kubanga gavumenti  tekoze kimala kubamanyisa.

Yiga okwongera bino abadde atongoza kawefube atumiddwa Discover Uganda discover life agendereddwamu okumanyisa bannayuganda ebikwata ku by’obulambuzi.