Amawulire
Mutwale abaana bagemebwe- Museveni
Pulezidenti Museveni asabye abazadde okutwaala abaana baabwe bagemebwe mu kugema poliyo okutandise leero okwetoolola eggwanga lyonna.
Bw’abadde ayogerako eri abantu be Mulo ekisangibwa e Rubanda, pulezidenti agambye nti abazadde basaanye okukulemberamu omulimu gw’okukuuma ebaana baabwe nga balamu
Pulezidenti asoose kugema baana nga tannayogerako eri bantu.
Abaana abali mu bukadde musanvu n’ekitundu beebatunuuliddwa okugemebwa mu nnaku esati era ng’obuwumbi 14.9 zeezigenda okukozesa.
Ab’ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna ne UNICEF beebassizza ensimbi mu kugea kuno.
Yye Omwogezi wa ministry y’ebyobulamu Rukia Nakamatte agamba nti olunaku olusoose lutambudde bulungi.
Yye nno omubaka wa Pulezidenti mu disitulikitiye Mubende Florence Beyunga alagidde poliisi okunonyereza ku nzikiriza ya Banyangakibya ewakanya okugema abaana ekirwadde kya Polio okutandise olunaku olwalero.