Amawulire

Mwetegekere amataba

Ali Mivule

March 13th, 2014

No comments

floods fresh 2

Ng’ebiseera by’enkuba bitandika butandisi, poliisi enziinya mooto alabudde abali mu bifo ebirumbibwa amataba okubeera obulindaala

Ebifo ebikosebwa amataba naddala mu kampala kuliko Namasuba, bwaise, kawempe ne kalerwe  ate bbo ababeera ku nsozi ng’abe Buduuda nabo batera okulumbibwa bibamba

Akulira abaziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti bategeezeddwa okubeera obulindaala okuyamba abali mu bwetaavu kyokka kitandikira ku bantu benyini abafuna obuzibu

Asabye abantu mu bitundu bino okugogola emyaala okukola amakubo omuyita amazzi