Amawulire

Mwewala emmotoka z’obuwanana- URA

Ali Mivule

February 5th, 2015

No comments

AKol new

Ekitongole ekiwooza ky’omusolo kirabudde bannayuganda okwewala okugula emmotoka eziriko enamba engwiira.

Mu December w’omwaka oguwedde, ekitongole kino ne poliisi y’ensi yonna baabowa emmotoka nga zino 47 nga ziriko enanmba z’amawanga amalala nga ezisinga zaali nzibe.

Okusinziira ku kamissiona avunanyizibwa ku byamaguzi ebiyingira eggwanga James Kisaale,agamba bannayuganda banji baagala nnyo okugula emmotoka zino ennungi ku bbeeyi eyawansi wabula nezikwatibwa poliisi y’ensi yonna oluvanyuma lw’okulondoolwa.

Agamba kati mu mateeka amapya, teri mmotoka eriko namba ngwiira egenda okukkirizibwa kutambulira ku nguudo za Uganda nga terina bijogerako bituufu.