Amawulire
NAADS- abavuganya bagobye amaggye
Abavuganya gavumenti bawakanyizza ne ssekuwakanya eky’amaggye okwezza enteekateeka ya NAADs
Pulezidenti bw’abadde ku mikolo gy’abazira agambye nti amaggye nga gakulirwa gen salim saleh geegagenda okwezza omulimu gw’okulondoola enteekateeka ya NAAds kubanga abakulu abaliwo bazze mu kulya.
Wabula mu lukungaana olw’awamu, abavuganya n’ab’ebibiina by’obwa nakyeewa bategeezezza nti ekikulu kuzimba bitongole ebiyitamu ensimbi zino sso ssi kuzza bintu wansi w’amaggye.
Akulira ekibiina kya UPC Dr Olara Otunnu agambye nti kimenya ssemateeka okuyingiza amaggye mu bintu by’abantu ba bulijjo era nga bano basigalire kukuuma ggwanga