Amawulire
Nabanja agamba Uganda efubye okulwanyisa obumenyi bw’amateeka
Bya Ben Jumbe,
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja akkaatirizza obwetaavu bw’okwongera okussa ssente mu by’okwerinda okulaba nga balwanyisa obumenyi bw’amateeka mu ngeri ennungamu.
Bino bibadde mu kuggulawo olukungana olw’okwekenneenya enfuga n’ebyokwerinda olutongozebwa leero mu Kampala
Ssaabaminisita nga akiikiriddwa minisita w’ebyokwerinda Maj Gen Jim Muhwezi ategeezezza nti wadde wabaddewo ebisoomooza mu byokwerinda, wabula wabaddewo okugenda mu maaso mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka okwetoloola eggwanga.
Ono era ategeezezza nti emisango gy’obumenyi bw’amateeka gikendedde okuva ku 667 ku buli bantu 100,000 mu mwaka gwa 2017/18 okutuuka ku misango 457 ku buli bantu 100,000 mu kiseera kino.
Mungeri yeemu omuwandiisi mu ofiisi ya pulezidenti Haji Yunus Kakande akkaatirizza obukulu bw’enfuga y’amateeka bweliba ngeggwanga lya kweyagalira mu democracia.