Amawulire
Nabbanja ayanukudde abasaba Gavt ku bbeeyi yé bintu
Bya prosy Kisakye,
Ssabaminisita Robinnah Nabbanja, akubiriza bannauganda okuggumira ebeeyi yébintu eyekanamye kuba gavumenti terina kyesobola kukola mu kadde kano.
Bino abyogeredde ku muzikiti gwa Gadaffi Mosque ku Old Kampala mu kusaala Eid.
Nabbanja agambye nti mu kiseera kino gavumenti tegenda kusala ku misolo kuba yeetaaga ensimbi ezókuvugirira embalirira ye ggwanga eyomwaka 2022/23 naddala ezinakola enguudo nebirala kuba mu myaka 2 egiyise teyafuna musolo oluvanyuma lwomuggalo ogwajja ne kirwadde kya covid-19.
Ono agambye nti gavumenti mu kadde kano esaba abantu bakozese mpolampola ebintu ebbeeyi ereme kubayitirirako ate abalimi betanire okulima ebinazi ne sun flower mu bungi batundeko ebweru.