Amawulire

Nalongo azaalidde ku kkubo

Ali Mivule

April 29th, 2014

No comments

Abatuuze ku kyalo ekimu mu district ye Kasese basigadde bewunya oluvanyuma lw’omukyala ow’olubuto okuzalira abalongo ku kubo nga agenda mu ddwaliro lye kagando.

Abeerabiddeko n’agabwe bategezezza nga omukadde abadde ali ku gage bwamuyambye okusindika abalongo bano oluvanyuma lwokumulaba nga takyasobola kutambula kilometer 4 ezibadde zisigaddeyo okutuuka ku ddwaliro.

Wano abazira kisa okubadde n’omujaasi w’amaggye basobodde okuwa nakawere ono obugoye mwazinze abalongo bano  era omupatiri nayitibwa amangu ago okusabira ezadde.

Enyambula embi ,mu kitundu kino byebimu ku kiretedde omuwendo gwabakyala abafiira mu ssanya okweyongera mu ggwanga.