Amawulire
Namugongo awuuma- abasuubuzi bakaaba
Bannaddiini ku bigwa by’abajulizo e Namugongo basabye abalamazi bonna okukuuma emirembe nga beewala ebikolwa by’effujjo
Atwala ekiggwa ky’abakulisitaayo e Namugongo Rev. Canon Henry Segawa agamba nti abakkiriza bangi beerabira okusaba nebadda mu kugangayira ekintu ekikyaamu
Ono agamba nti basuubira abalamazi enkumi ssatu okwetaba mu kusaba kw’enkya
Bbyo eby’okwerinda byongedde okukaligibwa ng’abantu bakeberwa emirundi esatu nga tebannatuuka ku kiggwa.
Okuddako ku by’entambula yyo embeera ya bulumi ng’emmotoka zikoma Kyaliwajjala era abantu bangi n’abatayagala kutambuza bigere, babuliddwaako eky’okukola
Okuva e Namugongo aba Taxi babadde basabawo enkumi ssatu mu bitaano ate okugendayo nga ziri enkumi ssatu.
Mu ngeri yeemu , abasuubuzi abasinga abeesunze okukola ensimbi tebafunye nga bwebbadde basuubira oluvanyuma lw’okugobwa mu bifo bulijjo webakolera
Wabula yyo poliisi egamba nti kino ekikoze okukuuma eby’okwerinda n’okwewala amavuyo ku kiggwa.
yye owa poliisi omulala abadde agenze e Namugongo mu mitongole ekoneddwa mmotoka emulese ng’ataawa
Francis Muzahura ng’akolera ku CPS amenyese n ‘okulumwa mu kifuba kyokka ng’omusaayi gugaanye okufuluma
Omu ku ba poliisi abaddewo Patrick Kaluuli agamba nti omupoliisi ono abadde ayitiddwa lubaluba okudda mu kifo ky’omusirikale omulala akedde okukoonebwa era n’afiirawo.