Amawulire

Namugongo wa byafaayo

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

Namugongo new plan

Kkanisa ya Uganda ebaze ku mulimu gw’okuzimba ekifo awanakuumirwa ebyafaayo ku bajulizi e Namugongo

Ekifo kino ekiteberezebwa okuwemmenta obuwumbi 36, kigendereddwaamu kulaba nti ebyo byonna ebikwata ku bajulizi bikuumwa bulungi kubanga bikulu eri abakkriza mu nsi yonna

Ssabasumba wa Uganda Stanley Ntagali agambye nti ekifo kino kisikiriza abalambuzi okuva mu bitundu by’ensi ebitali bimu n’eggwanga nga ssinga kiyoyootebwa bulungi, kisobola okutunda eggwanga ate nga kivaamu n’ensimbi.

Omulimu guno ogugenda okumala emyaka 3 gutandika omwezi ogujja