Amawulire
Nandos ne Mateos biggaddwa lwa misolo
Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kigadde ebbaala ya Mateos ne Nandos lwa misolo
Mateos bagibanja obukadde 150 ate Nandos ebangibanja obukadde 250.
Omwogezi w’ekitongole kino, Allan Sempebwa agamba nti baludde nga babanja abaddukanya ebifo bino kyokka nga tebenyeenya
Sempebwa wabula agamba nti oluvanyuma lw’okuggalawo ebifo bino, bannanyini byo basitukiddemu era nga enteseganya zitandide