Amawulire

Nkumba eggulawo mwaka gujja

Ali Mivule

December 10th, 2014

No comments

Nkumba strike

Yunivasite y’e Nkumba yakuggulwawo omwaka ogujja nga 19 January wabula n’obukwakkulizo obukakali eri abayizi bonna abakomawo.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ssentebe w’olukiiko olutwala ettendekero lino Dr David Byatike Matovu buli muyizi asoma emisana  wakusasula emitwalo 20 okuddabiriza ebyo byebayonoona nga bekalakaasa.

Ettendekero lino lirina abayizi b’emisana abasoba mu 3500 nga era baagala kulaba nga bafuna obukadde obusoba mu 700 okuzzaawo byonna ebyayononebwa.

Ate buli muyizi wakujuza foomu era obweyamo ku foomu eno bwakuwerekerezebwako ebirayiro okuva mu kkooti.

Yunivasite eno y’agalwa nga 19 November oluvanyuma lw’abayizi okwonono ebintu ebyenjawulo nga bekalakaasa olw’ebisdale okulinyisibwa.

Bano baali bawakanya eky’okwongeza ensimbi z’okuddamu ekigezo omuntu ky’aba agudde okuva ku mitwalo kkumi okudda ku abiri nga n’alwawo okwewandiisa zayongezebwa okuva ku mitwalo etaano okudda ku kkumi.