Amawulire
NRM ejaganya lwa ssabaminisita omujja
Pulezidenti Museveni wakwanirizibwa nambuutu oluvanyuma lw’okulonda Ssabaminisita omujja .
Abawagizi ba NRM e Wakiso ne Kampala wowulirira bino nga bategekedde omukulembeze w’eggwanga akabaga olw’okubalondera Dr.Ruhakana Rugunda nga ssabaminisita omujja oluvanyuma lw’okufuumula Amama Mbabazi.
Nga bakulembeddwamu ssentebe w’abavuibuka ba NRM e Wakiso Andrew Kiryoowa, ekibinja ky’abantu bano bakukanganira ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe okwaniriza pulezidenti nga ava mu Kibua Newyork mu Amerika olunaku olw’enkya.
Bino byasanguziddwa minisita avunanyizibwa ku kukunga abantu Richard Todwong mu lukangaana lw’abannamawulire wali ku Katikati.
Yye akulira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi agumizza nga eby’okwerinda bwebiri ggulugulu eri abagenda okwaniriza pulezidenti.
Bino bijidde mu kiseera nga pulezidenti kyajje agobe Amama Mbabazi ku bwa sasabaminisita n’amusikiza Dr. Rhakana Rugunda abadde minisita w’ebyobulamu.