Amawulire
NRM ewangudde Busia
Munna NRM Stephen Oudo Wanyama ye ssentebe wa disitulikiti ye Busia.
Oudo y’amezze munnaDP eyasimbiddwawo ab’oludda oluvuganya gavumenti Deo Njoki n’obululu 31443 ku 21844 obwa Njoki.
Akulira okulondesa mu mu disitulikiti ye Busia Sam Agaba yeyalangiridde ebyavude mu kalulu ku ssaawa nga 5 ez’ekiro nga era Oundo yafunye obululu ebitundu 59%.
Wabula tewabuzeewo birumira mu kalulu kano,omwabadde efujjo n’abalonzi ab’omuswaba.
Mungeri yeemu waabaddewo okulwanagana mu balonzi nga abamu beemulugunyizza olw’amanya gaabwe okubula ku nakalala kwebalondera n’okugulirira abalonzi.