Amawulire

Nsenga talina byabugagga byeyaleka-Kooti ewunikiridde

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Nsenga new

Omusirikale eyakulemberamu okunonyereza ku mukyala eyatomera bba n’amutta yejjerezza omukyala ono omusango.

Godfrey Musana agamba nti omukyala ono teyalina kigendererwa kitta bba era ng’emmotoka yamuwabakon’atomera geeti n’omusajja we

Mu kkooti eno olwaleero kitegerekese nti omugenzi Juvenile Nsenga teyalina byabugagga biri awo okujjako enju mwebaali basula

Kitegerekese nti ebintu byonna omusajja ono yali abiddukanya ku lwa famile sso ssi yye ng’omuntu

Omusajja ono yali yategeeza omukyala ono nti alina ebyobuggagga omuli polot ssatu e Nalukolongo, biloole 80, emmotoka musanvu zebaali bakozesa ewaka, goloofa e Mbuya n’ebirala nga bino byonna kizuuse nti ssi byamusajja.

Enyumba yokka n’omusajja gyeyalina e Bugoloobi kitegerekese nti liizi yaweddeko ekitegeeza nti nayo tekyaali yiye.

Kino kirese nga buli omu awunikiridde ate ng’olunaku lwajjo omukyala ono mu kwewozaako yategeezezza nti obuzibu bwonna bwava ku ba famile y’;omusajja abagaala okutwala ebintu bya bba era nga y’ensonga lwaki bamuggulako emisango

Olunaku lw’enkya abali ku ludda lw’omukyala lwebagenda okufundikira okwewozaako kwaabwe