Amawulire

Nsibambi emmotoka avuga neyazike

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Nsibambi

Palamenti ekitegedde olwaleero nti eyali ssabaminista Apollo Nsibambi emmotoka gy’avuga nneyazike

Ng’alabiseeko mu kakiiko akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti, Prof Nsibambi agambye nti n’ensimbi z’alina okufuna ez’okugula enyumba tazirabangako.

Wabula ono agambye nti musanyufu nti afuna obukadde 3.8 buli mwezi ez’akasiimo, amafuta, eddwaliro n’ebirala byakozesa ewaka

Nsibambi kyokka alumbye mukulu munne Gilbert Bukenya olw’okumwogerako nti yafuna buli kamu ate nga ssi bwegulu