Amawulire
Nsitaano e Kenya
Lutalo lwenyini ku kizimbe ekyawambiddwa abatujju mu ggwanga lya Kenya,amasasi geesooza.
Wowulira bino ng’amaggye ga Kenya agamaze okwesogga ekizimbe omuli abatujju nga n’abakuuma ddembe beebulunguludde ekizimbe kyonna
Yyo gavumenti ekakasizza nti abakoze obulumbaganyi buno ssi bakazi wabula basajja abeesabise mu ngoye z’abakazi.
Abatujju bano era bakumye omuliro ku ludda lw’ekizimbe olumu bwebategedde nti amaggye gatandise okwesonga mu kifo mwebali.
Abakuuma ddembe bakola kyonna ekisoboka okutaasa abantu abawambiddwa mu kizimbe kya westgate shopping mall.
Abantu ba bulijjo 62 beebakafa ate bbo abatujju 2 beebakattako.
Abatujju bano bateberezebwa okubeera nga wakati we 10 ne 15.
Gavumenti ya Kenya era alabudde abantu ku bansanga bisibe abatandise okuwereeza obubaka nga beefula abamu ku bawambe nga basabe ssente.
Minista akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga lya Kenya Joseph Olelenku agamba nti ab’amaggye bafubye okuddukirira abantuababadde bawambiddwa era nga bafuny essuubi nti bandiba nga baweddeyo.
Yyo gavumenti ya Uganda egamba nti tewali munnayuganda afiiridde mu bulumbaganyi bino nga munnayuganda omu yekka yeeyalumiziddwa ate amaze okudda ewaka
Ebibadde e Kenya birese bannayuganda bayuguuma era nabasaba nti amaggye agali e Somalia gagende mu maaos n’okufeffetta abatujju
Twogeddeko n’ababaka Alex Byarugaba, Bayiga Lulume , Akello Franca ne Emma Bona nga bonna bagamba nti abatujju bano beetaga maanyi kubanga bayitiridde okutta abantu.
Bbo abantu ba bulijjo abagamba nti amaggye gandibadde gezza eby’okwerinda.
Bangi bagamba nti eby’okwerinda byamunaganwa era nga ekyamangu kirina okukolebwa