Amawulire

NSSF erangiridde amagoba ga 12.15% eri ba memba

NSSF erangiridde amagoba ga 12.15% eri ba memba

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ekitavvu kyabakozi, ekya National Social security Fund, balangiridde amagoba eri ba memba agomwaka gwebyensimbi 2021/2022.

Minisita webyensimbi Matia Kasaija asinzidde mu ttabameruka wekitavvu kyabakozi owomulundi ogwa 9, nalangiririra amagoba ga 12.15% nga gano gali waggulu bwogerageranya 10.75% amagoba agagabibwa omwaka gwebyensimbi oguwedde.

Okusinziira ku Kasaija, omugatte NSSF egenda kugaba amagoba ga kesedde 1 nobuwumbi 520 nga waabaddewo okwyeongera okuva ku kesedde 1 nobuwumbi 140 omwaka gwebyensimbi oguwedde.

Kasaija ayongedde nakunga bannaYuganda nti bettnire okuterekanga ssente.

Agambye nti obukulu bwokutereka bweyolekeara mu kusomozebwa okubaddewo mu kiseera ekya ssenyiga omukambwe.

Yye ssenkulu wekitavvu kyabakozi Dr Richard Byarugaba mu alipoota gyawadde ba memba, agambye nti wabaddewo okukula mu byobugagga byekitavvu kwa 17% nga bwebwesedde 15 nekitundu.

Kinajjukirwa nti mu 2017/18 NSSF yakola amagoba agakyasinze era bagaba ga 15% mu kiseera ekyo.